1 Chronicles 1:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana abaazaalirwa Ketura, omusebeyi wa Yiburayimu: yazaala Zimurani, Yokutani, Medani, Midiyaani, Yisubaki ne Suwa. Batabani ba Yokutani: Saba ne Dedani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. Ate batabani ba Yokusaani baali Seeba ne Dedani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Ibulayimu be yazaala mu Ketula mukazi we omulala be bano: Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani, Isubaki, Suwa. Ne batabani ba Yokusaani; Seeba ne Dedani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Aburahamu be yazaala mu Ketura, mukazi we omulala: Ketura yazaala Zimurani, ne Yokusaani, ne Medaani, ne Midiyaani, ne Yisubaaki, ne Suuwa. Batabani ba Yakusaani: Seeba ne Dedani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Ketula, omuzaana wa Ibulayimu; oyo n'azaala Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. Ne batabani ba Yokusaani; Seeba, ne Dedani.