1 Chronicles 1:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kusamu bwe yafa Adadi mutabani wa Bedadi, yawangula Midiyaani mu nsi y'e Mowabu, n'amusikira ku bwakabaka; ekibuga kye nga kiyitibwa Aviti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Abamidiyaani mu lutalo olwali mu nsi ya Mowaabu n'afuga mu kifo kye: n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Avisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Husamu bwe yafa, Hadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Abamidiyaani mu lutalo olwali mu nsi y'e Mowaabu, n'afuga mu kifo kye. Erinnya ly'ekibuga kye lyali Aviti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyakuba Midiyaani mu ttale lya Mowaabu n'afuga mu kifo kye: n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Avisi.