1 Chronicles 1:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali-Kanaani bwe yafa, Adadi n'amusikira ku bwakabaka; ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu; mukazi we ng'ayitibwa Meetabeli muwala wa Maturedi, muwala wa Me-Zawabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baalukanani bwe yafa, Kadadi n'afuga mu kifo kye; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Payi: ne mukazi we erinnya lye yali Meketaberi muwala wa Matuledi, muzzukulu wa Mezakabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baalihanani bwe yafa, Hadadi ow'e Paayi, n'afuga mu kifo kye. Muka Hadadi yali Mehetabeli, muwala wa Makireedi era muzzukulu wa Mezahaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baalukanani bwe yafa, Kadadi n'afuga mu kifo kye; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Payi: ne mukazi we erinnya lye yali Meketaberi muwala wa Matuledi, muwala wa Mezakabu.