1 Chronicles 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo yafa bw'atyo kubanga teyali mwesigwa; teyeesiga Mukama, era n'Omukama bye yamugamba teyabituukirizanga; yassaako n'okwebuuzanga amagezi ku mizimu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe, kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; n'okugenda okwebuuza ku mukazi eyaliko omuzimu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Sawulo n'akisa omukono, olw'obutaba mwesigwa eri Mukama. Yagaana okukola ekyo Mukama kye yamulagira, era yeebuuza ku musamize amulagule,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko omuzimu, okumubuulizaamu,