1 Chronicles 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olutalo ne lunyiinyittira awaali Sawulo; abalasi b'obusaale ne bamuggukako ne bamussaako obuvune;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olutalo neruba lwa maanyi nnyo awaali Sawulo. Abalasi ne bamulasa obusaale n'alumizibwa nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olutalo ne lunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi b'obusaale ne bamulaba, ne bamulasa obusaale, n'afuna ebisago eby'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olutalo Sawulo ne lumugendera bubi, abalasi ne bamutuukako; neyeeraliikirira olw'abalasi.