1 Chronicles 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo kwe kugamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Sowola ekitala kyo okimpiseemu, sikulwa nga bano abatali batayirire bajja ne banjolonga.” Naye omwetissi w'ebyokulwanyisa n'agaana, kubanga yali atidde nnyo. Sawulo kwe kubaka ekitala kye n'akyesuulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumite onzitte; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyasitulanga eby'okulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akyetungako naafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba oyo eyakwatanga ebyokulwanyisa bye nti: Ggyayo ekitala kyo, onzite, abo abatali bakomole baleme okujja ne banswaza. Kyokka eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, n'agaana, kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava aggyayo ekitala kye, n'akyetungako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.