1 Chronicles 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwetissi we ow'ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeesuula ku kitala kye n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye kyeyava addira ekitala kye n'akyetungako n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeetunga ku kitala ekikye, n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afa.