1 Chronicles 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'afa, ko ne batabani be abasatu, n'ennyumba ye yonna; ne bafa lumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Sawulo n'akisa omukono, ne batabani be abasatu, n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.