1 Chronicles 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja Abayisirayeli bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng'eggye lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka, Abafilisitiini ne bajja ne babisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng'eggye lya Isiraeri lidduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng'eggye lya Yisirayeli lidduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafilistiya ne bajja ne babibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja bonna aba Isiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba nga badduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.