1 Chronicles 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamwambula ne batwala omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilisitiini balangirire okwetooloola wonna amawulire eri ebifaananyi byabwe ebya balubaale n'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo ne bamwambula, ne bamutemako omutwe, ne bagutwala awamu n'eby'okulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafirisuuti, okutuusaayo amawulire ago, eri ebifaananyi bye basinza, ne mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo ne bamwambula ne bamutemako omutwe, ne bagutwala awamu n'ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilistiya, okutuusaayo amawulire ago, eri ebifaananyi bye basinza, ne mu bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamwambula, ne baddira omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi y'Abafirisuuti enjuyi zonna, okutwala ebigambo ebyo eri ebifaananyi byabwe, n'eri abantu.