1 Chronicles 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be baali abakulu b'abasajja ba Dawudi abazira, bano ne Yisirayeli yenna abaawagira Dawudi okufuuka kabaka n'okunyweza obwakabaka bwe ng'Omukama bwe yali ayogedde ku Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be baali abakulu, abasajja ab'amaanyi, abazira Dawudi be yalina. Nga bali wamu n'Abaisiraeri bonna, baamuyamba okufuuka kabaka, nga Mukama bwe yagamba ku ggwanga lya Isiraeri, era be baakuuma obwakabaka bwe nga bwa maanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be baali abakulu, abasajja ab'amaanyi, abazira Dawudi be yalina. Nga bali wamu n'Abayisirayeli bonna, baamuyamba okufuuka kabaka, nga Mukama bwe yagamba ku Ggwanga lya Yisirayeli, era be baakuuma obwakabaka bwe nga bwa maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be baasinga obukulu mu bazira Dawudi be yalina, abeeraga nga ba maanyi eri ye mu bwakabaka bwe wamu ne Isiraeri yenna, okumufuula kabaka, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ekya Isiraeri.