1 Chronicles 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo yali ne Dawudi mu Pasi-Dammini Abafilisitiini lwe baakuŋŋaanira mu kifo ekyo okulwana. Ennimiro y'omu kitundu ekyo yali ejjudde sayiri. Amagye ne gadduka Abafilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammimu, era Abafirisuuti bwe bakuŋŋaanira eyo okulwana mu musiri gwa sayiri; abantu ne badduka Abafirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali wamu ne Dawudi e Pasidammimu, Abafilistiya bwe baakuŋŋaanira eyo okubalwanyisa mu lutalo awaali omusiri ogujjuddemu bbaale, Abayisirayeli abalala ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammiimu, era Abafirisuuti ne bakuŋŋaanira eyo okulwana, awaali omusiri ogwa sayiri; abantu ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti.