1 Chronicles 11:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bano ne bagumira mu nnimiro wakati ne bagitaasa, ne bakuba Abafilisitiini. Omukama n'abanunula n'obuwanguzi obw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Dawudi ne Eriyazaali ne bayimirira wakati mu Musiri ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n'abawa obuwanguzi obw'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye ne basajja be ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, ne batta Abafilistiya. Mukama n'abawa obuwanguzi obw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n'abalokola n'okuwangula okukulu.