1 Chronicles 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'evaayo abasajja Abasatu, ne bawaguza olusiisira lw'Abafilisitiini, ne bagenda basena amazzi mu kidiba ky'e Beteleemu ekyali okumpi n'omulyango, ne bagaleetera Dawudi. Naye n'agaana okuganywa, wabula n'agayiwa awo mu maaso g'Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu oluliraanye omulyango ogwa wankaaki, ne bagaletera Dawudi. Kyokka Dawudi n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abo abasatu ne bawaguza mu lusiisira olw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, olwali okumpi ne wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka Dawudi n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu olwaliraana omulyango, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye Dawudi n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama, n'ayogera nti