1 Chronicles 11:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Kikafuuwe, Katonda wange, nze okukola kino; nze okunywa omusaayi gw'abantu bano, kubanga baatunze omwoyo okundeetera amazzi gano.” Bw'atyo n'atayagala kuganywa. Abazira Abasatu ebyo bye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa. Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba nti Katonda wange aleme kunzikiriza kunywa mazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima. Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo bye by'obuzira abasajja abasatu abo ab'amaanyi bye baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Katonda wange aleme kunzikiriza kunywa mazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima.” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo bye byobuzira abasajja abasatu abo ab'amaanyi bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda wange akiddize eri gye ndi nze okukola bwe ntyo: nnywe omusaayi gw'abasajja bano abavudde mu bulamu bwabwe? kubanga bagaleese nga bavudde mu bulamu bwabwe. Kyeyava agaana okuganywa. Ebyo abasajja abo ab'amaanyi abasatu bye baakola.