1 Chronicles 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kusooka Sawulo bwe yali akyali kabaka, ggwe wali omukulembeze wa Yisirayeli mu ntabaalo zaabwe, kubanga Omukama Katonda wo yakugamba nti: ‘Ggwe onoolunda abantu bange Yisirayeli, ggwe onooba omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntabaalo. Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olikulembera abantu bange Abaisiraeri, era ggwe oliba omufuzi waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro eby'edda, Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama Katonda wo n'akugamba nti: ‘Ggwe olikulembera abantu bange Abayisirayeli, era ggwe oliba omufuzi waabwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wafulumyanga n'oyingiza Isiraeri: Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba omulangira w'abantu bange Isiraeri.