1 Chronicles 11:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abisayi muganda wa Yowabu ye yali omukulu w'amakumi Asatu. Yagalulira effumu lye abasajja ebikumi bisatu n'abatta; ne yeekolera erinnya mu Asatu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu: olumu yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja bisatu (300) n'abatta, n'ayatiikirira ku basatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu. Yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja ebikumi bisatu, n'abatta, n'ayatiikirira mu basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu kubanga yayimusa effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta, n'ayatiikirira ku basatu.