1 Chronicles 11:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu makumi Asatu ng'alinamu ekitiibwa kya mirundi ebiri, era nga y'abakulira, naye teyatuuka bali Abasatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku basatu abo, yali waakitiibwa n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku basatu abo, yali waakitiibwa, ababiri baamussangamu ekitiibwa n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku abo abasatu yali n'ekitiibwa okusinga ababiri, n'afuuka omukulu waabwe: naye n'atenkana abasatu ab'olubereberye.