1 Chronicles 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benaaya mutabani wa Yoyada yali musajja muzira eyakola ebingi; yali ava Kabuzeeli. Oyo yatta abasajja abazira babiri ab'e Mowabu. Era ku lunaku olw'omuzira yakkirira mu bunnya bw'oluzzi n'atta empologoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benaya ow'e Kabuzeeri mutabani wa Yekoyaada naye yali musajja muzira, eyakola ebikolwa eby'obuzira bwe yatta batabani ba Alyeri Omumowaabu ababiri era n'akka mu bunnya n'atta empologoma mu biro eby'omuzira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira, yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma. Era olumu mu biseera eby'obutiti, yakka mu bunnya n'atta empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omuzira ow'e Kabuzeeri, eyali akoze eby'amaanyi, oyo n'atta batabani ba Alyeri, owa Mowaabu bombi: era n'aserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira.