1 Chronicles 11:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassibwamu ekitiibwa okusinga Asatu; naye era teyatuuka bali Abasatu. Dawudi yamufuula mutwe gwa bakuumi be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale yalina ekitiibwa okusinga abo asatu (30), kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale yalina ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, yali n'ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, naye n'atenkana abasatu ab'olubereberye: Dawudi n'amufuula omukulu w'abambowa be.