1 Chronicles 11:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde bonna aba Yisirayeli bwe bajja ewa kabaka Dawudi mu Keburoni, Dawudi n'akola nabo endagaano mu maaso g'Omukama, ne bamusiiga omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu Samweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kyogera nga ayita mu nnabbi Samwiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulembeze bonna aba Yisirayeli ne bajja eri Kabaka Dawudi mu Heburooni. N'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Samweli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Samwiri.