1 Chronicles 11:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali mu Yebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira wano.” Naye Dawudi n'awamba ekigo kya Siyoni, kye Kibuga kya Dawudi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n'awamba ekigo ekyo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n'awamba ekigo ky'e Siyooni, ne kifuuka Ekibuga kya Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.