1 Chronicles 11:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yali agambye nti: “Anaasooka okukuba Omuyebusi, y'anaafuuka omuduumizi era omwami.” Yowabu mutabani wa Zeruya ye yasooka okulumba, bw'atyo n'afuuka omuduumizi w'eggye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'asooka okulumba, n'afuuka mukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba nti: “Anasooka okuttayo Abayebusi ye anaafuuka omukulu era omuduumizi w'eggye.” Awo Yowaabu nga nnyina ye Zeruyiya, n'aba nga ye asoose okulumba, n'afuuka omukulu w'eggye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'asooka okulinnya, n'afuuka mukulu.