1 Chronicles 12:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya ow'ekkumi ne Makubannayi ow'ekkumi n'omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Gaadi abo, be baali abakulu mu ggye, nga mu bo ow'amaanyi amatono asobola okulwanyisa abantu kikumi (100), ate asinga okuba ow'amaanyi, ng'asobola okulwanyisa abantu lukumi (1,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Gaadi abo, be baali abakulu mu ggye, nga mu bo ow'amaanyi amatono asobola okulwanyisa abantu kikumi, ate asinga okuba ow'amaanyi, ng'asobola okulwanyisa abantu lukumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo ab'oku baana ba Gaadi be baali abakulu b'eggye; omuto nga yenkana ekikumi, n'omukulu nga yenkana olukumi.