1 Chronicles 12:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Gaadi bano baali bagabe mu ggye, ng'asinga obutene alwanyisa abatabaazi kikumi, ate ng'asinga obunene alwanyisa abatabaazi lukumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogusooka mu mwaka, mu kiseera omugga ogwo mwe gwanjaalira ku mbalama zaagwo zonna, ne bagoba abatuuze bonna ab'omu biwonvu ne babasaasaanyiza ebuvanjuba era n'ebugwanjuba w'omugga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be baasomoka Omugga Yorudaani, mu mwezi ogusooka mu mwaka, mu kiseera omugga ogwo mwe gwanjaalira ku mbalama zaagwo zonna, ne bagoba abatuuze bonna ab'omu biwonvu ne babasaasaanyiza ebuvanjuba era n'ebugwanjuba w'omugga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baasomoka Yoludaani mu mwezi ogw'olubereberye, nga gumaze okwanjaala ku ttale lyagwo lyonna; ne bagoba abo bonna ab'omu biwonvu, ebuvanjuba era n'ebugwanjuba.