1 Chronicles 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Be baabo abaasomoka Yorudani mu mwezi omubereberye omugga we gutera okwalaalira ku mbalama zaagwo, ne babunya emiwabo abaabeeranga mu biwonvu ebuvanjuba n'ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ab'omu kika kya Benyamini n'ekya Yuda ne bagenda eri Dawudi mu ddungu eyali ekigo kye ekigumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abamu ku b'omu Kika kya Benyamiini n'ekya Yuda ne bajja eri Dawudi mu kigo kye ekigumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku baana ba Benyamini ne Yuda ne kujja mu kiddukiro eri Dawudi.