1 Chronicles 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bantu ba Benyamiini ne mu bantu ba Yuda waavaayo abasajja ne bajja ewa Dawudi mu kigo gye yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'avaayo okubasisinkana, n'abagamba nti, “Oba nga muzze lwa bulungi gye ndi okunnyamba, mbaanirizza. Naye oba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange nga tewali kabi ke nkoze, Katonda wa bajjajjaffe, akirabe ababonereze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'avaayo okubasisinkana, n'abagamba nti: “Oba nga muzze lwa bulungi gye ndi okunnyamba, mbaanirizza. Naye oba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange nga tewali kabi ke nkoze, Katonda wa bajjajjaffe, akirabe ababonereze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'afuluma okubasisinkana, n'addamu n'abagamba nti Oba nga muzze gye ndi mirembe okunnyamba, omutima gwange guneegatta nammwe: naye oba nga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga temuli kabi nu mikono gyange, Katonda wa bajjajjaffe akitunuulire, akinenye: