1 Chronicles 12:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yafuluma okubasisinkana n'abagamba nti: “Oba muzze gye ndi lwa mirembe, munnyambe, nsemba eky'okunneyungako, naye oba muzze kukettera balabe bange, sso nga nze siriiko musango, Katonda wa bajjajjaffe alabe asalewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti, “Ffe tuli babo, Dawudi! Tuli naawe, Omwana wa Yese! Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli; era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba, kubanga Katonda wo ajja kukubeera.” Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Amasayi, omukulu wa bali asatu (30), n'agamba nti Tuli babo, Dawudi. Tuli ku ludda lwo, mutabani wa Yese! Mirembe, emirembe gibe naawe. Era gibe n'abo abakuyamba. Kubanga Katonda wo ye muyambi wo. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula bakulu mu ggye lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Amasaayi, omukulu wa bali amakumi asatu, n'agamba nti: “Tuli babo, Dawudi. Tuli ku ludda lwo, mutabani wa Yesse! Mirembe, emirembe gibe naawe. Era gibe n'abo abakuyamba. Kubanga Katonda wo ye muyambi wo.” Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula bakulu mu ggye lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo ne gulyoka gujja ku Amasayi, eyali omukulu w'abo amakumi asatu, n'ayogera nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, gwe mutabani wa Yese: emirembe, emirembe gibe gy'oli, era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula abaami b'ekitongole.