1 Chronicles 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo n'akka ku Amasayi omukulu mu makumi Asatu n'agamba nti: “Tuli babo, ayi Dawudi! Tuli naawe, mutabani wa Yesse! Emirembe, emirembe gibeere naawe; abakuyamba babeere n'emirembe; kubanga Katonda wo akuyamba.” Dawudi n'abaaniriza, n'abawa okukulira ebikwanga bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaava mu kika kya Manase ne begatta ku Dawudi bwe yali nga agenda n'Abafirisuuti okulwanyisa Sawulo; Abafirisuuti ne bamugoba nga batya nti ayinza okubalyamu olukwe n'abawaayo eri Sawulo ne babatemako emitwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku batabaazi ab'omu Kika kya Manasse ne beegatta ku Dawudi, bwe yali ng'agenda awamu n'Abafilistiya mu lutalo okulwanyisa Sawulo. Kyokka Dawudi ne basajja be tebaasobola kuyamba Bafilistiya kubanga abakungu b'Abafilistiya bwe baamala okuteesa, ne bagoba Dawudi nga bagamba nti: “Yandituwaayo eri mukama we Sawulo, ne tutemwako emitwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne ku Manase ne kusenguka abamu ne basenga Dawudi, bwe yajja awamu n'Abafirisuuti okutabaala Sawulo, naye ne batabayamba: kubanga abakungu b'Abafirisuuti bwe baamala okuteesa ne bamugoba, nga boogera nti Anaasenga mukama we Sawulo n'aleeta akabi ku mitwe gyaffe.