1 Chronicles 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali balasi ba busale, nga basobola okulasa obusaale oba okukasuka envuumuulo n'emikono gyombi, ogwa ddyo oba ogwa kkono. Mu b'oluganda lwa Sawulo, Ababenyamiini:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baali ba mu kika kya Benyamini nga Sawulo bwe yali. Baakwatanga emitego gy'obusaale n'envuumuulo, nga basobola bulungi okulasa obusaale n'okuvuumuula amayinja nga bakozesa omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali ba mu Kika kya Benyamiini nga Sawulo bwe yali. Baakwatanga emitego gy'obusaale n'envuumuulo, nga basobola bulungi okulasa obusaale n'okuvuumuula amayinja nga bakozesa omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baakwatanga emitego era baayinza okuvuumuula amayinja n'okulasa obusaale ku mutego n'omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono; baali ba ku baganda ba Sawulo, ba Benyamini.