1 Chronicles 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abamu mu Manasse badduka ne beegatta ku Dawudi lwe yagenda n'Abafilisitiini okulwanyisa Sawulo. Kyokka tebaayamba Bafilisitiini kubanga abafuzi b'Abafilisitiini bwe beeteesaamu, ne bamugoba nga bagamba nti: “Kaamala n'asala n'adda ewa mukama we Sawulo, tunaaba emitwe gyaffe tugitunzeeyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku b'ekika kya Manase abeegatta ku Dawudi bwe yali nga agenda e Zikulagi be bano: Aduna, Yozabadi, Yediyayaeri, Mikayiri, Yozabadi, Eriku ne Zirresayi, abaduumiranga abasserikale olukumi lukumi mu ggye lya Manase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe yali ng'addayo e Zikulagi, ab'omu Kika kya Manasse bano ne bamwegattako: Aduna ne Yozabadi, ne Yediyayeeli, ne Mikayeli, ne Yozabadi ne Elihu, ne Zilletaayi abaaduumiranga abaserikale olukumi lukumi mu ggye ly'Abamanasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'agenda e Zikulagi, ne kumusenga ku Manase Aduna ne Yozabadi ne Yediyayaeri ne Mikayiri ne Yozabadi ne Eriku ne Zirresayi, abaami b'enkumi aba Manase.