1 Chronicles 12:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yagenda e Zikulagi, abasajja bano ab'omu Manasse ne badda gy'ali: Aduna, Yozabadi, Yediyayeli, Mikayeli, Yozabadi, Eliwu ne Zilletayi, abaali abagabe b'enkumi mu Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayamba Dawudi okulwanyisa abakwekwesi, kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga bakulu mu ggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayamba Dawudi okulwanyisa ebibinja ebyakolanga ebikwekweto, kubanga bonna bali basajja ba maanyi, abazira, era nga bakulu mu ggye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayamba Dawudi okulwana n'ekibiina eky'abakwekwesi: kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga baami ab'omu ggye.