1 Chronicles 12:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo ne bayamba Dawudi okulwanyisa ebikwanga ebyabalumbanga, kubanga bonna baali basajja batabaazi; bafuuka bagabe mu ggye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli lunaku wabangawo abeegatta ku Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye eddene erifaanana eggye lya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kumpi buli lunaku abalala bajjanga eri Dawudi okumwegattako, eggye lye ne lifuuka ddene nnyo eritagambika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli lunaku ne bajja eri Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye ddene, erifaanana eggye lya Katonda.