1 Chronicles 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era buli lunaku abantu bajjanga ewa Dawudi, eggye lye ne ligenda nga ligejja, ne lifuuka ddene lya maanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye bibinja by'abaserikale abajja eri Dawudi e Kebbulooni nga bakutte eby'okulwanyisa, okumuyamba okufuuka kabaka mu kifo kya Sawulo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gino gye miwendo gy'abo abajja eri Dawudi mu Heburooni nga bakutte ebyokulwanyisa mu ntalo, okumuyamba okufuuka Kabaka mu kifo kya Sawulo, nga Mukama bwe yagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era gino gye miwendo gy'emitwe gy'abo abaakwata ebyokulwanyisa okulwana, abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okukyusa obwakabaka bwa Sawulo eri ye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.