1 Chronicles 12:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Guno gwe muwendo ogw'abatabaazi abaalina ebyokulwanyisa abeegatta ku Dawudi e Keburoni, bakyuse obwakabaka bwa Sawulo babuzze ku ye nga Omukama bwe yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaava mu kika kya Yuda abasobola okulwanyisa engabo n'amafumu baali kakaaga mu lunaana (6,800).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Yuda kaakaga mu lunaana, abaakwata engabo n'amafumu, nga beetegese okulwana olutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yuda abaakwatanga engabo n'effumu baali kakaaga mu lunaana abaakwata ebyokulwanyisa okulwana.