1 Chronicles 12:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Zadoki omuvubuka omutabaazi omuzira, wamu n'abagabe abiri mu babiri okuva mu nnyumba za bajjajjaabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Benyamini abaalina oluganda ku Sawulo baali enkumi ssatu (3,000), kubanga okutuusa mu kiseera ekyo abasinga obungi mu kika ekyo baali bakyanyweredde ku nnyumba ya Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Benyamiini abooluganda ne Sawulo, baali enkumi ssatu, kubanga mu kiseera ekyo abasinga obungi ku b'omu Kika ekyo baali bakyanyweredde ku b'ennyumba ya Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku baana ba Benyamini, baganda ba Sawulo, enkumi ssatu: kubanga okutuusa ku biro ebyo abasinga obungi baali banyweredde ku nnyumba ya Sawulo.