1 Chronicles 12:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bantu ba Benyamiini, baganda ba Sawulo: enkumi ssatu; mu bo abasinga obungi n'okutuusa kati baali bakyagoberera ennyumba ya Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ab'omu kika kya Efulayimu abasajja ab'amaanyi abazira abaayatiikirira mu nnyumba za bajjajjaabwe baali emitwalo ebiri mu lunaana (20,800).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Efurayimu baali emitwalo ebiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira era ab'amannya mu nnyumba za bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku baana ba Efulayimu, obukumi bubiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayatiikirira mu nnyumba za bajjajjaabwe.