1 Chronicles 12:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kyokubiri eky'ekika kya Manasse, omutwalo gumu mu kanaana, buli omu ng'ayitiddwa linnya ku linnya, ne basindikibwa bajje bafuule Dawudi kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Isakaali abasajja abaategeera ebiro bwe biri, era abamanyanga Isiraeri kyagwanidde okukola, era abaagonderwanga baganda baabwe bonna baali bibiri (200).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Yissakaari, abaategeera ekiseera bwe kyali ne bamanya Yisirayeli ky'egwanidde okukola, baali abakulembeze ebikumi bibiri, ne baganda baabwe bonna abagondera ebiragiro byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku baana ba Isakaali, abasajja abaategeera ebiro bwe byali, okumanya ebigwanidde Isiraeri okukola; emitwe gyabwe gyali ebikumi bibiri; ne baganda baabwe bonna baagonderanga okulagira kwabwe.