1 Chronicles 12:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bantu ba Yissakari, abasajja abalabalaba, abalengera amangu Yisirayeli ky'ateekwa okukola, nga bawera abaami ebikumi bibiri, nga bali n'ab'eŋŋanda zaabwe be bakulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kikya kya Zebbulooni abasobola okulwana nga bamalirivu nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'engeri zonna emitwalo etaano (50,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano abeesigwa era abamalirivu, abaatendekebwa okukozesa buli kyakulwanyisa kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Zebbulooni abo abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, n'ebyokulwanyisa eby'engeri zonna, obukumi butaano; era abaayinza okusimba (ennyiriri,) so abataali ba mitima ebiri.