1 Chronicles 12:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bantu ba Zebuluni: emitwalo etaano, abasajja abamanyirivu mu kutabaala n'okuweza buli kyakulwanyisa, abajja bayambe Dawudi n'omutima gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Nafutaali baali abakulembeze lukumi (1,000) abalina abasserikale babwe abakwata engabo n'amafumu baali emitwalo esatu mu kasanvu (37,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Nafutaali baali abakulembeze lukumi, wamu n'abantu baabwe emitwalo esatu mu kasanvu, ababagalidde engabo n'amafumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Nafutaali, abaami lukumi, era wamu n'abo abalina engabo n'effumu, obukumi busatu mu kasanvu.