1 Chronicles 12:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Badaani: emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga, abasajja abeetegese okulwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Aseri abaayinza okulwana baali emitwalo ena (40,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ab'omu Kika kya Aseri baali emitwalo ena, abeeteeseteese okulwana olutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Aseri, abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, obukumi buna.