1 Chronicles 12:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bantu ba Aseeri: emitwalo ena, abasajja abamanyirivu mu by'entalo, abeetegese okulwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abava mu bika ebyali ebuvanjuba wa Yoludaani, ekya Lewubeeni, ekya Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase, abasobola okulwana nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'engeri zonna baali akasiriivu mu emitwalo ebiri (120,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Bika eby'ebuvanjuba wa Yorudaani, ekya Rewubeeni, ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, baali emitwalo kkumi n'ebiri, nga balina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emitala wa Yoludaani, ku Balewubeeni n'Abagaadi ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, nga balina ebyokulwaayisa eby'engeri zonna olw'olutalo, kasiriivu mu obukumi bubiri.