1 Chronicles 12:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emitala wa Yorudani mu bantu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse: akasiriivu kamu mu obukumi bubiri ababagalidde buli kya kulwanyisa kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe. Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be basajja abalwanyi abaali abamalirivu okulwana era abeegattibwako n'aba Isiraeri abalala bonna abamalirivu abagenda e Kebbulooni okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale abo bonna abaali batendekeddwa okulwana, ne bajja e Heburooni nga balina omutima omumalirivu okufuula Dawudi Kabaka wa Yisirayeli yonna. Era n'Abayisirayeli abalala bonna baali bamaliridde mu ngeri ye emu okufuula Dawudi Kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna, abasajja abalwanyi, abaayinza okusimba ennyiriri, ne bajja n'omutima ogwatuukirira e Kebbulooni, okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yenna: era n'Abaisiraeri abalala bonna baalina omutima gumu okufuula Dawudi kabaka.