1 Chronicles 12:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abo bonna baali basajja batabaazi, abeetegese okutabaala. Bajja e Keburoni n'omutima ogumaliridde okufuula Dawudi kabaka wa Yisirayeli yenna. N'abalala bonna abasigaddeyo mu Yisirayeli baalina ekigendererwa kimu eky'okuddira Dawudi abeere kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamalayo ennaku ssatu nga bali ne Dawudi, nga balya era nga banywa ebyo baganda baabwe bye baali babategekedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamalayo ennaku ssatu nga bali ne Dawudi, nga balya era nga banywa ebyo ab'eggwanga lyabwe bye baali babategekedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamalayo wamu ne Dawudi ennaku ssatu nga balya era nga banywa: kubanga baganda baabwe baali babategekedde.