1 Chronicles 12:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baamala ennaku ssatu nga bali ne Dawudi nga balya n'okunywa; anti ab'eŋŋanda zaabwe baali babaleetedde ebyokulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaali ab'okumpi, n'abaali ab'ewala ng'ab'ebika ekya Isakaali, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, ne baleeta endogoyi, eŋŋamira, ennyumbu, n'ente nga zeetisse emigaati, eby'okulya eby'obutta, ebitole byettini, ebirimba bye zabbibu enkalu, omwenge n'amafuta g'emizeyituni. Ne baleeta n'ente n'endiga nnyingi ez'okutta okulya, kubanga mu Isiraeri yonna mwalimu essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaali ab'okumpi, n'abaali ab'ewala ng'ab'Ebika ekya Yissakaari, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, ne baleeta endogoyi, eŋŋamiya, ennyumbu, n'ente nga zeetisse ebyokulya: obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebitole by'ettiini, n'ebirimba by'emizabbibu ebikaziddwa, n'omwenge, era n'omuzigo gw'emizayiti. Ne baleeta n'ente n'endiga nnyingi ez'okutta okulya, kubanga mu Yisirayeli yonna mwalimu essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate abo abaabali okumpi, okutuuka ku Isakaali ne Zebbulooni ne Nafutaali, ne baleeta emigaati ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumba ne ku nte, ebyokulya eby'obutta; n'ebitole eby'ettiini n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu n'omwenge n'amafuta n'ente n'endiga nnyingi: kubanga mu Isiraeri nga mulimu essanyu.