1 Chronicles 12:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowela ne Zebadiya batabani ba Yerokamu ab'e Gedori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kika kya Gaadi mwavaamu abasajja abaagoberera Dawudi mu ddungu gye yali akoze ekifo ekigumu, abasajja ab'amaanyi abazira, abaayigirizibwa okulwanyisa engabo n'amafumu, abatunuza obukambwe nga empologoma, abasobola okudduka nga empeewo z'okunsozi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu Kika kya Gaadi ne muvaamu abasajja ab'amaanyi abazira, abaagoberera Dawudi mu ddungu gye yali akoze ekigo ekigumu. Baali bannamagye abamanyirivu mu kulwana entalo, abamanyi okulwanyisa engabo n'amafumu, abatunuza obukambwe ng'empologoma era abasobola okudduka embiro ng'empeewo ez'oku nsozi. Be bano nga bwe baali baddiriŋŋana:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Bagaadi ne kweyawula abaagoberera Dawudi ku kiddukiro mu ddungu abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayigirizibwa okulwana, abaayinza okukwata engabo n'effumu; amaaso gaabwe nga gafaanana amaaso g'empologoma, era ab'embiro ng'empeewo eziri ku nsozi;