1 Chronicles 13:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ensonga eyo Ssanduuku teyagikyamya wuwe, mu Kibuga kya Dawudi, wabula n'agitwala ku nnyumba ya Obedi-Edomu Omugitti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ataleeta ssanduuko ewuwe mu kibuga kya Dawudi naye n'agikyamya n'agiteeka mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'atagitwala wuwe mu kibuga kye, wabula n'agikyamya n'agiteeka mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ataleeta ssanduuko okugireeta gy'ali mu kibuga kya Dawudi, naye n'agikyamya mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.