1 Chronicles 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku ya Katonda n'emala mu nnyumba ya Obedi-Edomu, mu nnyumba ye, emyezi esatu; Omukama n'awa omukisa ennyumba ye na byonna bye yalina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu n'eba ne Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n'awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu ng'eri n'ab'omu maka ge. Mukama n'awa omukisa amaka ga Obededomu ne byonna bye yalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu ng'eri n'aba Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n'awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina.