1 Chronicles 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba ekibiina kyonna ekya Yisirayeli nti: “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, era nga kwe kwagala kwa Mukama Katonda waffe, tutume eri baganda baffe abalala mu bitundu wonna ebya Yisirayeli n'eri bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga ne mu malundiro gaabwe, tusabe batwegatteko,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba abantu ba Isiraeri bonna abaali bakuŋŋaanye nti Bwe muba nga mukisiima era nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutumire baganda baffe abalala mu bitundu bya Isiraeri byonna, ne bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe ne mu byalo bajje batwegatteko:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba Abayisirayeli bonna abaali mu lukuŋŋaana olwo nti: “Bwe muba ng'ekyo kye musiima, era nga ne Mukama Katonda waffe ky'ayagadde, ka tutumire baganda baffe abalala mu bitundu bya Yisirayeli byonna, ne bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ne mu byalo byabwe, bajje batwegatteko,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri nti Oba nga musiima bwe mutyo, era oba nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutume wonna wonna eri baganda baffe abasigaddewo mu nsi yonna eya Isiraeri, bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ebiriko ebyalo, bakuŋŋaanire gye tuli;