1 Chronicles 13:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Dawudi n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna okuva ku Mugga Sikori ogwa Misiri okutuuka ku Lebo-Kamati, baggye Ssanduuku ya Katonda e Kiriyati-Yewarimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Abaisiraeri bonna, okuva kagga Sikoli akali ku nsalo n'e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko y'endagaano ya Katonda eyo nga bagiggya e Kiriyasuyalimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Abayisirayeli bonna, okuva ku Sihori akagga ak'oku nsalo ne Misiri, okutuuka awayingirirwa e Hamati, okuleeta Essanduuko y'Endagaano eya Katonda okugiggya e Kiriyati Yeyariimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Sikoli akagga ak'e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko ya Katonda nga bagiggya e Kiriyasuyalimu.